LetraDdembe

Bobi Wine

Última actualización realizada el: 24 de enero de 2021
No hay traducciones disponiblesNo hay traducciones disponibles

We no promote no violence We condemn the violence Rasta no promote no violence; hear me out...

Mbalaba abakubagana, abalumagana, abatemangana Mbalaba abavumagana mu kifo ky′okulungamya Omuntu eyandibaddewo okulungamya abavubuka Kati ate y'abakulembera mukukola obutabanguko Eh bino bwenabirabye natidde nnyo Okulwana mu bavubuka kususse nnyo Ng′ate abakulembeze kibaswaza nnyo Wamma abavubuka nze nsaba tukole bwetuti Nsaba okulonda kubeere kwaddembe Ah n'obuyinza bukyuke mu ddembe Bannayuganda mulonde mu ddembe Awo obulamu butunyumire Nsabye, okulonda kubeere kwa ddembe Ah n'obuyinza bukyuke mu ddembe Bannayuganda tubeere ba ddembe Ah n′omwaka gubanyumire Kuva ku "independence" tuli mu ntalo Ky′ekiganye ne Uganda okkula lwantalo Buli "government" eja nantalo Era baagala okugenda zibe nga ntalo Bakikola batya eri ebusukka nsalo Abakyusa awatali kulwana ntalo Lwaki temukitandika ba Ssebo? Ng'ate mwagamba ky′ekyabalwanyisa entalo Lwaki oyoza engoye enjeru, ate n'ozanika ku kiti kyenziro? Lwaki temulabira ku Mandela Yafuga kimu nata bendera Abakulembeze okulwa mu ntebbe Kyekiretera Uganda okufuuka eddebe Buli ayogerako ng′olwo afuuse mulabe Ekyo tekituzimba tuba tudda mabega Abantu obaleka nebalondawo Omuntu atakoze nebamujjawo Ekyo ne Ssemateeka akyogerako Wabula, Nsaba okulonda kubeere kwaddembe Ah n'obuyinza bukyuke mu ddembe Bannayuganda mulonde mu ddembe Awo obulamu butunyumire Nsabye, okulonda kubeere kwa ddembe Ah n′obuyinza bukyuke mu ddembe Bannayuganda tubeere ba ddembe Ah n'omwaka gubanyumire Now this is a message to every Ugandan Especially the candidates Right from LC1 straight up to President Violence is backwardness While peace is God bless Gano g'emazima gali agakaawa Atanalabuka kati nkubuusa "boy" Bw′oba nga mu mazima oyagala Uganda Ne mu bikolwa okiraganga Tuzimbe omusingi oguyamba Uganda N′abaana baffe kwebalirabira Bamanye nti omuntu okugenda mu buyinza Tekikyetagisa kuyiwa musaayi Bamanye nti abantu besimbawo Abantu nebalondako Asinze n'abafuga Gwebasinze n′amukwata ne mu mukono Naye abakulembeze kati mutulaga kimu kyakulwana Lwaki mutukuza bubi? Laba bwetukuze ffena nga tumanyi kimu kya kulimba Lwaki mutukuza bubi? Nze bwenjogerako ku kituufu n'onzigulako emisango Awo oba otufuze bubi Ayawuka n′endowoozayo tekimufuula mulabe wo Ffena tuli banna "U" Omukulembeze omulungi awuliriza ebiruma abantu N'abaako ky′akolawo Buli munnayuganda w'oli kikakatako okukuuma emirembe Ffena tuli banna "U" Nsaba okulonda kubeere kwaddembe Ah n'obuyinza bukyuke mu ddembe Bannayuganda mulonde mu ddembe Awo obulamu butunyumire Nsabye, okulonda kubeere kwa ddembe Ah n′obuyinza bukyuke mu ddembe Bannayuganda tubeere ba ddembe Ah n′omwaka gubanyumire "The Magic" is a real magician "Dream Studio" gyeguvugidde "The Magic" is a real magician Yeah man, "For God and My Country" Kampala, Uganda, Africa... bwah

No hay traducciones disponiblesNo hay traducciones disponibles
  • 0

Últimas actividades

Sincronizada porMwalye Ronald

One place, for music creators.

Get early access